Micah 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kugumiikiriza obusungu bw'Omukama, kubanga namusobya, okutuusa lw'aliramula ensonga zange, n'annejjeereza. Alinfulumya mu kitangaala, ndiraba obutuukirivu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaagumikirizanga Mukama bw’anaabanga ambonereza, kubanga nnyonoonye mu maaso ge, okutuusa lw’alimpolereza, n’anziza buggya. Alindeeta mu kitangaala, era ndiraba obutuukirivu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naagumiikirizanga obusungu bwa Mukama kubanga mmujeemedde; okutuusa lw'aliwoza ensonga yange, era lw'alinsalira omusango, alindeeta eri omusana, era ndiraba ku butuukirivu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaagumikiriza obusungu bwa Mukama kubanga mmujeemedde. Oluvannyuma alinnwanirira, n'asalawo nti nze mutuufu. Alindeeta mu kitangaala, ne ndaba nga bw'ali omwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naagumiikirizanga obusungu bwa Mukama kubanga mmujeemedde; okutuusa lw'aliwoza ensonga yange, era lw'alinsalira omusango: alindeeta eri omusana, era ndiraba ku butuukirivu bwe.