Nahum 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balyegombeza mu maggwa, ng'abatamiivu abatamidde omwenge gwabwe, balisenkenyezebwa ne baggwaawo ng'essubi ekkalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga baliba ng’amaggwa agakwataganye, era nga batamidde, balyoke bookebwe omuliro ng’ekisambu ekikalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
newakubadde nga bali ng'amaggwa agakwataganye, era ng'abanywi b'omwenge abatamidde, balyokerwa ddala ng'ekisambu ekikaze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wadde bali ng'amaggwa agakwataganye, era ng'abanywi b'omwenge abatamidde, alibookya n'abasaanyaawo ng'ebisambu ebikaze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga newakubadde nga bali ng'amaggwa agakwataganye, era nga batobye okwenkana mu kunywa kwabwe, balyokerwa ddala ng'ensambu enkalu.