Nahum 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda kino ky'agamba: “Ne bwe baliba ba maanyi era nga bangi, balikutulwako ne babulawo. Nakulabya ennaku, kyokka siriddamu kuzikulabya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Newaakubadde nga balina be bakolagana nabo bangi, ate nga bangi, balizikirizibwa ne baggwaawo. Newaakubadde nga mbabonereza mmwe abantu bange, siriddayo kukikola nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Newakubadde nga balina amaanyi mangi, ate nga bangi, balizikirira baggweerewo ddala. Newakubadde nga nnababonyaabonya mmwe, naye sikyababonyaabonya nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino Mukama ky'agamba abantu be Abayisirayeli nti: “Wadde Abassiriya bangi era nga ba maanyi, banaazikirira baggweewo. Newaakubadde nababonyaabonya mmwe, naye sikyababonyaabonya nate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Newakubadde nga balina amaanyi amakakafu era bangi, era balizikirira, naye alivaawo. Newakubadde nga nakulabisa ennaku, sikyakulabisanga nnaku.