Nahum 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama awadde ku ggwe ekiragiro nti: “Toliba na zadde lya kusikira linnya lyo; nzija kuzikiriza ebifaananyi bya balubaale ebyole n'ebisaanuuse ebiri mu kiggwa kya lubaale wo; nzija kusima entaana yo, kubanga oweebuuse.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino Mukama ky’alagidde ekikwata ku Nineeve: “Erinnya lyo terikyayala nate. Ndizikiriza ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse ebiri mu masabo g’abakatonda bo; ndisima entaana yo kubanga oyinze obugwagwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bino Mukama byalagidde ebikwata ku Nineeve, “Temulifuna bazzukulu balituumibwa mannya gammwe. Ndizikiriza ebifaananyi ebyole n'ebisaanuuse ebiri mu nnyumba ya bakatonda bo. Ndibasimira entaana kuba muyitiridde obugwagwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino Mukama ky'alagidde ekifa ku mmwe Abassiriya: “Temulifuna bazzukulu balituumibwa mannya gammwe. Ndizikiriza ebifaananyi ebyole era n'ebisaanuuse ebiri mu masabo ga balubaale bammwe. Ndibasimira entaana kuba temusaanira kuba balamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Mukama alagidde ku ggwe baleme okweyongera okusiga ku linnya lyo; ndizikiriza ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse bive mu nnyumba ya bakatonda bo; ndisima entaana yo; kubanga oli mugwagwa.