Nahum 1:15 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba, ebigere ebirungi eby’oyo aleese amawulire amalungi, alangirira emirembe. Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu, era otuukirize obweyamo bwo; omubi kaakano takyakulumba, azikiririzibbwa ddala, tolimulaba nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba omubaka ajja abuulirira ebigambo ebirungi, alangirira emirembe! Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu, tuukiriza obweyamo bwo; kubanga ababi tebakyaddamu kubalumba mmwe, bazikiririziddwa ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulabe omubaka ali ku nsozi ajja, aleeta amawulire amalungi, era alangirira emirembe! Mmwe abantu b'omu Buyudaaya, mukuume ennaku zammwe enkulu. Bye mweyama mubituukirize, kubanga ababi tebakyaddamu kubalumba mmwe. Bazikiririziddwa ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ku nsozi ebigere by'oyo abuulirira ebigambo ebirungi, alangira emirembe! Weekuuma embaga zo, ggwe Yuda, tuukiriza obweyamo bwo; kubanga omubi takyayitanga wakati wo; azikirira ddala.