Nahum 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aboggolera ennyanja n'agikaliza, n'emigga gyonna agikaza. Basani ne Karumeli biyongobedde, n'ebimuli bya Lebanoni biwotose.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akangavvula ennyanja n’agikaza era akaza emigga gyonna, ennimiro ez’omu Basani zikala, olusozi Kalumeeri lwonna lukayuse, n’ebimuli bya Lebanooni biwotose.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
alagira ennyanja n'ekalira, era n'emigga gyonna agikaza. Ennimiro ze Basani ne Kalumeeri zibabuse, n'ebimuli by'oku Lebanooni biwotose.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alagira ennyanja n'ekalira, era emigga gyonna agikaza. Ettale ly'e Basani n'ery'oku Lusozi Karumeeli libabuse. Ebimuli by'oku Lebanooni biwotose.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akangavvula ennyanja n'agikaza; era akaza emigga gyonna; Basani ebabuse ne Kalumeeri, era ekimuli eky'oku Lebanooni kibabuse.