Nahum 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensozi ziyuuguuma w'ali, n'obusozi buseebengerera; enkulungo y'ensi ekankana mu maaso ge, ensi na bonna abagisulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensozi zikankanira mu maaso ga Katonda, obusozi ne busaanuuka, ettaka ne lyatikayatika mu maaso ge, ensi n’ekankana n’abantu bonna abagirimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu maaso ga Mukama ensozi zikankana, obusozi ne busaanuuka, ettaka ne lyatikayatika. Ensi yonna n'abagiriko ne bizikirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensozi zikankanira w'ali, obusozi ne busaanuuka. Ettaka likka bw'alabika. Ensi yonna yeekaaka, n'abagiriko ne batekemuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensozi zikankana gy'ali, obusozi ne busaanuuka; era ettaka ne limmuka mu maaso ge; weewaawo, ensi zonna ne bonna abazibeeramu.