Nahum 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama mulungi, obuddukiro ku lunaku olw'akabi; afaayo ku abo abasuubira mu ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama mulungi, kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, era alabirira abo bonna abamwesiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama mulungi, kigo ky'abamwesiga ku lunaku olw'okulabirako ennaku, alabirira abo abamwesiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama mulungi: akuuma abantu be mu biseera ebizibu. Alabirira abamwesiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama mulungi, kigo ku lunaku olw'okulabiramu ennaku; era amanyi abo abamwesiga.