Nahum 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'omujjuzi ogwaladde alisaanyaawo ababi, aliwondera abalabe be okubatuusiza ddala mu nzikiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye alisaanyaawo abalabe be mu mataba amazibu, ekizikiza kiribawondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye alisaanyizaawo ddala abamukyawa n'omujjuzo gw'amazzi, era abalabe be alibagobera mu kizikiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamukyawa alibasaanyizaawo ddala n'omujjuzo gw'amazzi, era abalabe be alibasindika emagombe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne mukoka akulukuta alimalirawo ddala ekifo kyakyo, era abalabe be alibagobera mu kizikiza.