Nahum 2:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigere biibyo ku nsozi eby'oyo alangirira amawulire ag'essanyu, alangirira eddembe. Yuda, kuza embaga zo enkulu, bye weetema bituukirize, kubanga ababi tebaliddayo kukulumba, baasaanyiziddwawo ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nineeve, olumbiddwa omulabe; kuuma ekigo, Kuuma ekkubo, weesibire ddala onywere mu kiwato, kuŋŋaanya amaanyi go gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nineeve, olumbiddwa, ow'okukusaanyawo atuuse, kuuma ekigo kyo, tunuulira ekkubo, weesibe wenyweze, funvubira n'amaanyi go gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nineeve, olumbiddwa, anaakumulungula atuuse! Kuuma ekigo kyo, labirira oluguudo! Weesibe wenyweze, funvubira n'amaanyi go gonna!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo atandaggira ayambuse mu maaso go; kuuma ekigo, tunuulira ekkubo, nyweza ekiwato kyo, beera n'amaanyi agatasingika.