Nahum 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munyage zaabu, munyage ffeeza; obugagga tebuliiko kkomo, eby'obugagga okuva mu mawanika ge gonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibuga kisigadde kyangaala! Abantu bonna emitima gibeewanise, emibiri gibakankana, amaviivi gabakubagana, basiiwuuse ne mu maaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nineeve kisaanyiziddwawo, abantu baamu bonna emitima gibeewanise, amaviivi gabakubagana, n'ebiwato bibakankana, era basiiwuse ne mu maaso olw'entiisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nineeve kyabuliddwa, ebyamu binyagiddwa, kisigalidde awo! Tewali alaga buzira, amaviivi gabakubagana; n'ebiwato bibakankana era abantu bonna amaaso gabapeeruuse olw'entiisa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiri busa, kiri bwereere, kizise: tewali aguma omwoyo, amaviivi gakubagana, okulumizibwa kuli mu biwato byonna, era abantu bonna batukulatukula mu maaso olw'entiisa.