Nahum 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kirekeddwa matongo, kyayiddwa, kizikiriziddwa! Omutima gutekemuse; entegetege zifambye; ebyenda bikankana; amaaso gonna gabapeeruuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eri ludda wa empuku y’empologoma, ekifo we ziriisiza empologoma zaazo ento, empologoma ensajja, n’enkazi, n’ento we zaatambuliranga nga tewali kizikanga?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibuga kiri ludda wa ekyali eky'ekitiibwa ng'empuku y'empologoma, empologoma ento mwe zaaliiranga, era mwe zaasigalanga awatali azitiisa, ng'empologoma enkulu ensajja n'enkazi zitambudde?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga kiri ludda wa ekyali kitiibwa ng'empuku y'empologoma, empologoma ento mwe zaaliiranga, era mwe zaasigalanga awatali azitiisa, ng'empologoma enkulu ensajja n'enkazi zitambudde?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empuku y'empologoma eri ludda wa, n'eddiiro ly'empologoma ento, empologoma ensajja n'enduusi we zaatambuliranga, omwana gw'empologoma, so tewali azitiisa?