Nahum 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enfo y'empologoma eri ludda wa, n'empuku y'ebyana by'empologoma, ensajja n'enkazi n'ebyana byazo gye ziraga awatali azikangako?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Empologoma ensajja yayigganga ennyama y’abaana ebamala, n’enkazi n’ezittira eyaazo, n’ejjuza empuku n’omuyiggo, ne mu bisulo ne mujjula ennyama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nineeve yali mpologoma ensajja, buli kye yattanga n'ekitaagula obulere, n'ekireetera ento ezo, era n'enkazi zaayo, n'ejjuza empuku yaayo, ensolo ezitaaguddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Empologoma ensajja buli kye yattanga n'ekitaagula obulere, n'ekireetera ento ezo, era n'enkazi zaayo. N'ejjuza empuku yaayo, ensolo ezitaaguddwa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empologoma yataagulataagula eky'okumala abaana baayo, n'etugira empologoma zaayo enduusi, n'ejjuza empuku zaayo omuyiggo n'ebisulo byayo ebitaagulwa.