Nahum 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empologoma yakwata ebinaamala obwana bwayo, n'etugira ne ginnaayo enkazi, n'ejjuza empuku yaazo n'omuyiggo, n'enfo yaazo n'ebitaaguju.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba nze Mukama ow’Eggye nkwolekedde, era ndyokya amagaali go gonna ne ganyooka, n’ekitala kirizikiriza empologoma zo ento. Era tolifuna munyago mulala nate ku nsi, n’eddoboozi ly’ababaka bo teririddayo kuwulirwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Ndi mulabe wo, ndyokya amagaali go ne ganyooka omukka, era abasserikale bo balizikirizibwa n'ekitala, nditwala byonna bye wanyaga. Eddoboozi ly'ababaka bo teriiwulirwenga nate.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ndikubonereza ggwe! Ndyokya amagaali go ne ganyooka omukka, era abaserikale bo balittirwa mu lutalo. Nditwala byonna bye wanyaga. Eddoboozi ly'ababaka bo teriiwulirwenga nate.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndi mulabe wo, bw'ayogera Mukama w'eggye; nange ndyokya amagaali gaakyo mu mukka, n'ekitala kirizikiriza empologoma zaakyo ento; era ndiggya ku nsi ky'otaagula, n'eddoboozi ly'ababaka bo teriiwulirwenga nate.