Nahum 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama ajja kuzzaawo ettendo lya Yakobo libeere ng'erya Yisirayeli, newandibadde ng'abanyazi baabinyagulula, ne boonoona n'emizabbibu gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Engabo z’eggye erikutabadde zonna myufu n’engoye ze bambadde nazo bwe zityo. Amagaali g’ebyuuma gamasamasa ku lunaku lwe gategekebwa, era n’amafumu gagalulwa mu ngeri ey’entiisa!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja be abazira bakutte engabo emmyufu, abasserikale be bambadde ebyambalo ebitwakaavu. Amagaali gaabwe ag'ebyuma gaakaayakana ng'omuliro, era n'amafumu gagalulwa n'entiisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja be abazira bakutte engabo emmyufu: Abalwanyi be bambadde ebyambalo ebitwakaavu. Amagaali gaabwe gaakaayakana ng'omuliro. Embalaasi z'olutalo ziri bulindaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Engazo z'abazira be zisiigibwako gerenge; abantu ab'amaanyi bambadde engoye entwakaavu; ebyuma by'amagaali bimasamasa ku lunaku lw'ateekateeka, era amafumu gagalulwa n'entiisa.