Nahum 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Engabo z'abazira be mmyufu, abatabaazi beekapise mu kasaayi. Ebyuma ku bigaali bye bimyamyansa; ku lunaku lwe bitegekerwa olutalo, n'abeebagazi beetala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amagaali g’abalwanyi gatayira mu nguudo, gadda eno n’eri, galabika ng’emimuli egyaka, gamyansa ng’eggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amagaali g'abalwanyi getawulira mu nguudo z'ekibuga, galabika ng'emimuli egyaka, gamyansa ng'eggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagaali gabunye ekibuga geetawulira mu nguudo. Gaakaayakana ng'emimuli, gatemagana ng'ebimyanso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amagaali gatayira mu nguudo mbiro, ganyigana mu nguudo engazi; gafaanana ng'emimuli, gabuukabuuka ng'emyansa.