Nahum 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyassibwawo ayambuddwa, atwaliddwa; abazaana be basindogoma ng'amayiba, beekuba mu bifuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’omu Nineeve bafaanana ng’ekidiba eky’amazzi agakalira. Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!” bo beeyongerayo bweyongezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo mu Nineeve bafaanana ng'ekidiba ky'amazzi agakulukuta. Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!” Tewali atunula mabega.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu badduka okuva mu Nineeve ng'amazzi agava mu kidiba ekyabise. Bwe babakoowoola nti: “Muyimirire, muyimirire!” Tewali atunula mabega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Nineeve kibaddewo okuva mu nnaku ez'edda ng'ekidiba ky'amazzi; naye badduka; Muyimirire, muyimirire, bwe bakoowoola; naye tewali atunuulira ennyuma.