Nahum 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nineve ali ng'ekidiba ky'amazzi, amazzi gaakyo gakulukuta gagenda; “Muyimirire! Muyimirire!” Naye teri akomawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffeeza yaakyo temugirekaawo, ne zaabu nayo mugitwalire ddala, omunyago teguggwaayo, eby’obugagga byakyo ebitabalika ebirungi ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munyage ffeeza, munyage zaabu, eby'obugagga tebiriiko kkomo. Ekibuga kijjudde ebintu, buli kirungi kiri omwo!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munyage ffeeza, munyage zaabu! Ebyobugagga tebiriiko kkomo! Ekibuga kijjudde ebintu: buli kirungi kiri omwo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munyage effeeza, munyage ezaabu; ebiterekebwa tebiriiko we bikoma, omuwendo ogw'ebintu byonna ebyegombebwa.