Nahum 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tunuulira eggye lyo, bonna bakazi! Emiryango gy'ensi yo gyonna miggulire abalabe bo; omuliro gusenkenyezza emiyingo gyayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba abalwanyi bammwe balinafuwa ne batiitiira ng’abakazi. Enzigi z’ensi yo nzigule eri abalabe bo. Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, abasserikale bo baliba nga abakazi, tewaliba bataasa nsi yo. Enzigi eza wankaaki ez'ensi yo nziggule eri abalabe bo, n'omuliro gulisaanyawo emikiikiro gy'enzigi zo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laba abaserikale bo bali ng'abakazi: tewali bataasa nsi yo, kugigobako balabe! Omuliro gusaanyaawo emikiikiro gy'enzigi zo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, abantu bo wakati wo bakazi; enzigi eza wankaaki ez'ensi yo ziggulirwa ddala eri abalabe bo; omuliro ne gulya emikiikiro gyo.