Nahum 3:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Assuri, abasumba bo beebase, abaami bo bagandadde. Abantu bo babunye emiwabo ku nsozi, tewali abakuŋŋaanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli, n’abakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko. Abantu bo basaasaanira ku nsozi nga tewali n’omu abakuŋŋaanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasumba bo babongoota, ggwe kabaka w'e Bwasuli. abakungu bo ab'ekitiibwa bafudde, abantu bo basaasaanidde ku nsozi, so tewali wa kubakuŋŋaanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe Kabaka w'Assiriya, abasumba bo nno bafudde! Abakungu bo bagaŋŋalamye. Abantu bo basaasaanidde mu nsozi, tewaliiwo abakuŋŋaanya!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasumba bo babongoota, ggwe kabaka w'e Bwasuli; abakulu bo ab'ekitiibwa bawummula; abantu bo basaasaanira ku nsozi, so tewali wa kubakuŋŋaanya.