Nehemiah 1:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo bennyini baweereza bo era bantu bo, be wanunula n'obuyinza obungi, n'omukono gwo ogw'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abo be baddu bo era be bantu bo be wanunula n’amaanyi go amangi era n’omukono gwo ogw’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bano be baddu bo era be bantu bo be wanunula n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogw'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be bantu bo era abaweereza bo, be wanunuza obuyinza bwo obungi era n'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bano be baddu bo era be bantu bo be wanunula n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogw'amaanyi.