Nehemiah 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kanani omu ku baganda bange n'ajja ng'ava mu Yuda, yali n'abasajja abamu; ne mbabuuza ebifa ku basajja okuva mu Yuda bakaawonawo abaali basumattuse obuwaŋŋanguse, ne ku Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kanani, omu ku baganda bange, n’ajja n’abamu ku basajja okuva mu Yuda, ne mubuuza ku bikwata ku kitundu ky’Abayudaaya ekyasigalawo, ne ku bifa mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kanani omu ku baganda bange n'ajja, ye n'abasajja abamu abaava mu Yuda; ne mbabuuza ebifa ku Bayudaaya abaawona, abaali basigadde mu busibe, n'ebigambo by'e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hanani, omu ku baganda bange, n'ajja n'abantu abalala okuva mu Buyudaaya. Ne mbabuuza ebifa mu Yerusaalemu, ne ku Bayudaaya bannaffe abaddayo okuva mu buwaŋŋanguse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kanani omu ku baganda bange n'ajja, ye n'abasajja abamu abaava mu Yuda; ne mbabuuza ebigambo by'Abayudaaya abaawona, abaali basigadde mu busibe, n'ebigambo by'e Yerusaalemi.