Nehemiah 1:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baŋŋamba nti: “Bakaawonawo abaasumattuka obuwaŋŋanguse abaddayo mu kitundu ky'eyo, bali mu kabi kanene na mu buswavu, ne bbugwe wa Yeruzaalemu yamenyebwa, n'emiryango gyaggya omuliro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bantegeeza nti, “Abaawaŋŋangusibwa abaddayo mu ssaza bali mu kabi kanene ne mu nnaku nnyingi; bbugwe wa Yerusaalemi yamenyebwa, era ne wankaaki waakyo yayokebwa omuliro.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baŋŋamba nti, “Ekitundu ekifisseewo abasigadde mu busibe eyo mu ssaza balabye ennaku nnyingi n'okuvumibwa; era bbugwe wa Yerusaalemi amenyesemenyese, n'emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baŋŋamba nti: “Abo abaddayo mu kitundu ekyo nga bava mu buwaŋŋanguse, banakuwavu nnyo, era bawulira okuswala, kubanga ebisenge bya Yerusaalemu bimenyeddwa era n'enzigi zaakyo zookeddwa omuliro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baŋŋamba nti Ekitundu ekifisseewo abasigadde mu busibe eyo mu ssaza balabye ennaku nnyingi n'okuvumibwa: era bbugwe wa Yerusaalemi amenyesemenyese, n'emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro.