Nehemiah 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nawulira ebigambo ebifaanana bityo, natuula ne nkaaba. Namala ennaku nga nkungubaga; nasiibanga ne nsaba mu maaso ga Katonda w'eggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula wansi ne nkaaba, ne mmala ebiro nga nnakuwadde, nga nsiiba era nga nsaba mu maaso ga Katonda w’eggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe nnawulira ebigambo ebyo ne ntuula ne nkaaba amaziga ne nnakuwalira ennaku eziweerako; ne nsiiba ne nsaba mu maaso ga Katonda w'eggulu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula ne nkaaba amaziga, ne mmala ennaku eziwerako nga nkungubaga, era nga sirya mmere, era ne nsinza Katonda w'Eggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe nnawulira ebigambo ebyo ne ntuula ne nkaaba amaziga, ne nnakuwalira ennaku ezimu; ne nsiiba ne nsaba mu maaso ga Katonda w'eggulu,