Nehemiah 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda w'eggulu, nkwegayiridde, Katonda omukulu, ow'entiisa, akuumira endagaano n'ekisa abakwagala n'abakwata ebiragiro byo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne njogera nti, “Ayi Mukama Katonda w’eggulu, Katonda omukulu ow’entiisa, akuuma endagaano ye, era ayagala abo abagondera amateeka ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne njogera nti, “Nkwegayiridde, ayi Mukama Katonda w'eggulu, Katonda omukulu ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne bakwata ebiragiro bye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama, Katonda w'Eggulu, oli mukulu era oli wa ntiisa! Okuuma endagaano yo, era oba n'okwagala okutakoma eri abo abakwagala, era abakola by'olagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne njogera nti Nkwegayiridde, ai Mukama Katonda w'eggulu, Katonda omukulu ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne bakwata ebiragiro bye: