Nehemiah 1:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okutu kwo kuwulirize n'amaaso go gazibukire essaala y'omuweereza wo eyeegayirira mu maaso go emisana n'ekiro nga nsabira abaweereza bo Abayisirayeli. Neetonda olw'ensobi z'Abayisirayeli, nange n'ab'ennyumba ya kitange ze twakusobya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ozibule amaaso go, otege okutu okuwulira okusaba kw’omuddu wo kwe nsaba mu maaso go emisana n’ekiro ku lwa baddu bo abantu ba Isirayiri. Njatula ebibi bye twakola, ffe Abayisirayiri, nga nange n’ennyumba ya kitange mwe tuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okutu kwo kuwulire nno, n'amaaso go gazibuke, owulire okusaba kw'omuddu wo kwe nsaba mu maaso go mu biro bino emisana n'ekiro, olw'abaana ba Isiraeri abaddu bo, nga njatula ebibi eby'abaana ba Isiraeri bye twakwonoona; weewaawo, nze n'ennyumba ya kitange twayonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tunula era otege okutu owulire essaala yange, nze omuweereza wo, nga nkwegayirira emisana n'ekiro olw'abantu bo Abayisirayeli. Njatula nti ffe Abayisirayeli twayonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okutu kwo kuwulire nno, n'amaaso go gazibuke, owulire okusaba kw'omuddu wo kwe nsaba mu maaso go mu biro bino emisana n'ekiro, olw'abaana ba Isiraeri abaddu bo, nga njatula ebibi eby'abaana ba Isiraeri bye twakwonoona: weewaawo, nze n'ennyumba ya kitange twayonoona.