Nehemiah 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twakola bubi nnyo gy'oli; tetwakwata biragiro, amateeka n'ennamula bye walagira Musa omuweereza wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twasobya mu maaso go, ne tutagoberera mateeka go n’ebiragiro byo bye watuma omuddu wo Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Twakola eby'obukyamu ennyo gy'oli, so tetwakwata biragiro byo, newakubadde amateeka go, newakubadde emisango bye walagira omuddu wo Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twakukolera ebitatuuse, tetwakwata bye walagira, wadde amateeka ge watuwa ng'ogayisa mu muweereza wo Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Twakola eby'obukyamu ennyo gy'oli, so tetwakwata biragiro newakubadde amateeka newakubadde emisango bye walagira omuddu wo Musa.