Nehemiah 1:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Jjukira ebigambo bye walagira Musa omuweereza wo, n'ogamba nti: ‘Bwe muliba mweyisizza bubi, ŋŋenda kubasaasaanya mu mawanga;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Jjukira ebiragiro bye wawa omuddu wo Musa, ng’oyogera nti, ‘Bwe mutaabeerenga beesigwa, ndibasaasaanya mu mawanga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkwegayiridde, jjukira ekigambo kye walagira omuddu wo Musa ng'oyogera nti, ‘Bwe munaasobyanga, nnaabasaasaanyizanga ddala mu mawanga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jjukira kye walagira omuweereza wo Musa nti: ‘Bwe mutaabeerenga beesigwa, nnaabasaasaanyizanga mu mawanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkwegayiridde, jjukira ekigambo kye walagira omuddu wo Musa ng'oyogera nti Bwe munaasobyanga, naabasaasaanyizanga ddala mu mawanga: