Nehemiah 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye bwe muliba mukomyewo gye ndi ne mukwata ebiragiro byange ne mubissa mu nkola, abawaŋŋangusibwa bo ne bwe baliba ewala eggulu gye likoma, ndibakuŋŋaanyaayo eyo ne mbakomyawo mu kifo kye nalonda kibeere ekisulo ky'erinnya lyange.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye bwe mulikyuka ne mukomawo gye ndi, ne mugondera amateeka gange, abantu bammwe abaawaŋŋangusibwa ne bwe banaabeeranga ku nkomerero y’eggulu, ndibakuŋŋaanyayo ne mbaleeta mu kifo kye neeroboza okubeerangamu Erinnya lyange.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bwe munaakomangawo gye ndi ne mukwatanga ebiragiro byange ne mubikolanga, newakubadde ng'abammwe abaagobebwa nga banaabanga ku nkomerero y'eggulu, naye naabakuŋŋanyanga okubaggyayo, ne mbaleetanga mu kifo kye nneeroboza okutuuza omwo erinnya lyange.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe munaakyukanga ne mudda gye ndi, ne mukola bye mbalagira, nnaabakomyangawo okuva yonna gye munaabanga musaasaanidde mu nsi, ne mbateeka mu kifo kye nalonda okunsinzizangamu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bwe munaakomangawo gye ndi ne mukwatanga ebiragiro byange ne mubikolanga, newakubadde ng'abammwe abaagobebwa nga banaabanga ku nkomerero y'eggulu, naye naabakuŋŋaanyanga okubaggyayo, ne mbaleetanga mu kifo kye nneeroboza okutuuza omwo erinnya lyange.