Nehemiah 10:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ensonga eno tukola endagaano ennywevu, ne tugissa mu buwandiike, n'abakulembeze baffe, Abaleevi ne bakabona baffe bagenda kugissaako emikono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abassaako emikono be bano: Nekkemiya owessaza, mutabani wa Kakaliya. Ne Zeddekiya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abo abassaako akabonero be bano: Nekkemiya omufuzi, mutabani wa Kakaliya, ne Zeddekiya;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be bantu abaateekako emikono: Nehemiya omufuzi, mutabani wa Hakaliya, ne Zeddeekiya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abo abassaako akabonero be bano, Nekkemiya Tirusaasa, mutabani wa Kakaliya, ne Zeddekiya;