Nehemiah 10:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malluki, Karimu ne Baana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu abalala bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abaweereza b’omu yeekaalu, n’abo bonna abeeyawula ku mawanga agaali gabaliraanye olw’Amateeka ga Katonda, awamu ne bakyala baabwe, ne batabani baabwe bonna ne bawala baabwe bonna; bonna abamanyi era abategeera
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abalala bonna, bakabona n'Abaggazi, n'abayimbi, n'abaweereza b'omu Yeekaalu, n'abo bonna abeeyawula okuva mu mawanga ag'omu nsi eyo ne bagoberera amateeka ga Katonda, nga bali wamu ne bakazi baabwe, batabani baabwe, ne bawala baabwe, na buli muntu eyalina amagezi ag'okumanya n'okutegeera;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli abalala bonna, bakabona, n'Abaleevi, n'abaggazi, n'abayimbi, n'abaweereza b'omu Ssinzizo, n'abo bonna abeeyawula ku bantu b'omu nsi eyo ne bagoberera Amateeka ga Katonda, nga bali wamu ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe, na buli muntu eyalina amagezi ag'okumanya n'okutegeera,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abantu abalala bonna, bakabona n'Abaleevi n'abaggazi n'abayimbi n'Abanesinimu n'abo bonna abeeyawula mu mawanga ag'omu nsi eri amateeka ga Katonda, bakazi baabwe, batabani baabwe, ne bawala baabwe, buli muntu eyalina okumanya n'okutegeera;