Nehemiah 10:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu, abalala, kwe kugamba nti bakabona, Abaleevi abaggazi n'abayimbi, abaweereza b'omu Kiggwa, n'abo bonna abeeyawula mu bantu b'omu nsi ezo olw'Etteeka lya Katonda, wamu ne bakazi baabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe, na bonna abasobola okutegeera,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
beegatte ku baganda baabwe abakungu balayire okugobereranga Amateeka ga Katonda agaabaweebwa Musa omuddu wa Katonda, n’okugonderanga, amateeka gonna, n’ebiragiro, byonna ebya Mukama Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne beegatta ne baganda baabwe, n'abakungu baabwe, ne beegwanyiza ekikolimo n'ekirayiro okutambuliranga mu mateeka ga Katonda ge yawa nga agayisa mu Musa omuddu we era n'okukwatanga n'okukolanga ebiragiro byonna ebya Mukama, Katonda waffe, n'emisango gye n'amateeka ge;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne beegatta ku baganda baabwe ne ku bakungu baabwe, ne balayira nti: “Tukolimirwe singa tuligaana okugobereranga Amateeka, Katonda ge yawa ng'agayisa mu muweereza we Musa, era bwe tuligaana okukwatanga, n'okukolanga byonna ebiri mu Mateeka n'ebiragiro, Mukama Katonda waffe bye yateekawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne beegatta ne baganda baabwe, abakungu baabwe, ne beegwanyiza ekikolimo n'ekirayiro okutambuliranga mu mateeka ga Katonda agaaweerwa mu Musa omuddu wa Katonda, n'okukwatanga n'okukolanga ebiragiro byonna ebya Mukama, Mukama waffe, n'emisango gye n'amateeka ge;