Nehemiah 10:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ka beegatte ku baganda baabwe abakungu, nga beesiba n'ekikolimo oba n'ekirayiro nti ba kutambulira mu Tteeka lya Katonda lye yawa ng'ayita mu Musa omuweereza wa Katonda, nga ba kukwata n'okutuusa ebiragiro by'Omukama Katonda waffe byonna, ennamula ye n'amateeka ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tusuubiza obutafumbiza bawala baffe mu bantu abatwetoolodde, newaakubadde okukkiriza batabani baffe okuwasa bawala baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era tulemenga okuwa bawala baffe mu b'amawanga ag'omu nsi, newakubadde okutwaliranga batabani baffe bawala baabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tetuufumbizenga bawala baffe mu ba mawanga malala, wadde okuwasiza batabani baffe bawala baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era tulemenga okuwa bawala baffe amawanga ag'omu nsi, newakubadde okutwaliranga batabani baffe bawala baabwe;