Nehemiah 10:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era nti tetujja kufumbiza bawala baffe bantu ba mu nsi, n'abawala baabwe tetujja kubawasiza batabani baffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu abamawanga agatwetoolodde, bwe banaaleetanga ebyamaguzi oba ebyokulya okubitunda ku lunaku olwa ssabbiiti, tetuubibagulengako ku Ssabbiiti newaakubadde ku lunaku olwatukuzibwa olulala lwonna. Buli mwaka ogw’omusanvu tetuulimenga ttaka lyaffe, era tunaasonyiwanga be tubanja bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era amawanga ag'omu nsi bwe banaaleetanga ebintu oba eby'okulya byonna okutundira ku lunaku olwa Ssabbiiti, tetuubibagulengako ku Ssabbiiti newakubadde ku lunaku olulala lwonna olutukuvu; era tetuulimenga misiri gyaffe mu mwaka ogw'omusanvu, n'okubanjizangamu ebbanja lyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'amawanga amalala bwe banaaleetanga ebyokulya oba ebintu ebirala byonna okubitunda ku Sabbaato, tetuubibagulengako ku Sabbaato, oba ku lunaku olulala lwonna olutukuvu. Era mu buli mwaka ogw'omusanvu, tetuulimenga misiri gyaffe, era tetuubanjenga bbanja na limu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era amawanga ag'omu nsi bwe banaaleetanga ebintu oba ebyokulya byonna okutundira ku lunaku olwa ssabbiiti, obutagulaaniranga nabo ku ssabbiiti newakubadde ku lunaku olutukuvu: era nga tunaalekanga omwaka ogw'omusanvu, n'okubanjanga ebbanja lyonna.