Nehemiah 10:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu b'omu nsi bwe banaaleetanga ku Sabbaato eby'okutunda n'emmere yonna batunde, tetujja kubibagulangako ku Sabbaato ne ku nnaku entukuvu; omwaka ogwomusanvu tujja kuguwummulanga, na buli bbanja tulisonyiwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tunaatwalanga obuvunaanyizibwa okuwangayo eri Katonda waffe kimu kya kusatu ekya sekeri buli mwaka olw’obuweereza mu nnyumba ya Katonda waffe:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne tweteekerawo amateeka, ne twesalira okuwangayo buli mwaka ekitundu eky'okusatu ekya sekeri olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda waffe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twetemye okuwangayo buli mwaka ekitundu kimu ekyokusatu ekya sekeli olw'emirimu gy'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne tweteekerawo amateeka okwesaliranga buli mwaka ekitundu eky'okusatu ekya sekeri olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda waffe;