Nehemiah 10:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twetema okutuukiriza ebiragiro: buli mwaka okuwangayo ekyokusatu ekya sekeli ku mulimu gw'Ekiggwa kya Katonda waffe:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olw’emigaati egy’okulaga; olw’ekiweebwayo eky’obutta ekya buli kiseera, n’olw’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera, n’olw’ebiweebwayo ebya Ssabbiiti, n’eby’embaga y’omwezi ogwakaboneka, n’embaga ezaateekebwawo n’olw’ebintu ebyatukuzibwa; n’olw’ebiweebwayo olw’ekibi okutangiririra Isirayiri; n’olw’emirimu gyonna egy’omu nnyumba ya Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tunaawangayo ebintu bino: emigaati egy'okulaga, n'ebiweebwayo buli lunnaku eby'obutta n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo eby'oku Ssabbiiti n'eby'oku myezi egyakaboneka, n'olw'embaga ezaateekebwawo, n'ebintu ebirala ebitukuvu n'ebiweebwayo okutangirira ebibi bya Isiraeri, n'olw'emirimu gyonna egy'omu nnyumba ya Katonda waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era tunaawangayo ebintu bino: emigaati emitukuvu n'ebiweebwayo buli lunaku eby'empeke, n'ensolo ezookebwa mu bitambiro buli lunaku, n'ebiweebwayo ebya buli Sabbaato, n'ebiweebwayo ng'omwezi gubonese, ne ku mbaga endala, n'ebintu ebirala ebitukuvu, n'ebiweebwayo okutambira olw'ebibi bya Yisirayeli. Tunaawangayo n'ebintu ebirala byonna ebyetaagibwa mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olw'emigaati egy'okulaga n'olw'ekiweebwayo eky'obutta ekitaggwaawo n'olw'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaggwaawo, eby'oku ssabbiiti n'eby'oku myezi egyakaboneka, n'olw'embaga egyateekebwawo, n'olw'ebintu ebitukuvu n'olw'ebiweebwayo olw'ekibi okutangirira Isiraeri, n'olw'emirimu gyonna egy'omu nnyumba ya Katonda waffe.