Nehemiah 10:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ku lw'Emigaati gy'Okwolesebwa, ku lw'ekitone eky'obuwunga eky'etteeka, ku lw'ebitambiro ebyokye ebya buli lunaku, ku lw'ekitambiro ky'oku Sabbaato eky'etteeka, ku mbaga y'Okuboneka kw'Omwezi, ku mbaga enkulu eziragiddwa, ku lw'ekitambiro ekitukuvu, ku lw'ekitambiro olw'ekibi okuddaabiriza olwa Yisirayeli, ne ku lwa buli kidda ku Kiggwa kya Katonda waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ffe bakabona, n’Abaleevi, n’abantu twekubidde obululu okumanya ebiseera ennyumba zaffe mwe zinaaleeteranga enku mu nnyumba ya Katonda waffe, okwakanga mu kyoto kya Mukama Katonda waffe nga kyaka buli mwaka, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne tukuba obululu, bakabona n'Abaleevi, n'abantu abalala, olw'ekiweebwayo eky'enku, okuzireetanga mu nnyumba ya Katonda waffe ng'ennyumba za bakitaffe bwe zaali; mu biseera ebyalagirwa buli mwaka, okwokeranga ku kyoto kya Mukama Katonda waffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era bakabona, n'Abaleevi, naffe abalala, tunaakubanga obululu buli mwaka, okulonda ebika ebinaaleetanga mu mpalo ekiweebwayo eky'enku mu Ssinzizo lya Katonda waffe, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne tukuba obululu, bakabona n'Abaleevi n'abantu, olw'ekiweebwayo eky'enku, okuzireetanga mu nnyumba ya Katonda waffe ng'ennyumba za bakitaffe bwe zaali mu biseera ebyalagirwa buli mwaka, okwokeranga ku kyoto kya Mukama Katonda waffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka: