Nehemiah 10:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ffe, bakabona, Abaleevi n'abantu abalala bonna tukubye obululu okuwa buli nnyumba ya bajjajjaabwe ekiseera mu mwaka w'eneereeteranga enku ez'okukozesanga ku mwaliiro gwa Katonda waffe, nga bwe kyawandiikibwa mu Tteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ate era tutwala obuvunaanyizibwa okulaba nga buli mwaka tuleeta mu nnyumba ya Mukama ebibala ebisooka ku bisimbe byaffe ne ku buli muti ogubala ebibala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tweyamye n'okuleetanga ebibala ebibereberye eby'ettaka lyaffe, n'ebibereberye eby'ebibala byonna eby'oku miti egy'engeri zonna buli mwaka mu nnyumba ya Mukama;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Twetemye okuleetanga mu Ssinzizo buli mwaka, ebirime ebisooka okukungulwa mu nnimiro zaffe, n'ebibala ebisooka okunogebwa ku miti gyonna egy'ebibala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okuleetanga ebibala ebibereberye eby'ettaka lyaffe, n'ebibereberye eby'ebibala byonna eby'oku miti egy'engeri zonna buli mwaka mu nnyumba ya Mukama: