Nehemiah 10:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tujja kuleetanga buli mwaka mu Kiggwa kya Katonda waffe amakungula agasooka ag'ettaka lyaffe, n'ebibala ebisooka ebya buli muti oguleeta ebibala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, tunaaletanga abaana aboobulenzi ababereberye, n’ennyana ennume ezisooka ez’ente zaffe, n’ennyana z’amagana gaffe, n’ez’ebisibo byaffe, eri bakabona abaweerereza mu nnyumba ya Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'ababereberye ku batabani baffe ne ku bisibo byaffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, n'ebibereberye ku nte zaffe ne ku ndiga zaffe okubireetanga mu nnyumba ya Katonda waffe eri bakabona abaaweererezanga mu nnyumba ya Katonda waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Batabani baffe abaggulanda tunaabatwaliranga bakabona abaweereza mu Ssinzizo, ne tubawaayo eri Mukama, nga bwe kyalagirwa mu Mateeka. Era tunaawangayo eri Mukama ensolo zaffe ezisooka okuzaalibwa: ente n'embuzi n'endiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'ababereberye ku batabani baffe ne ku bisibo byaffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, n'ebibereberye ku nte zaffe ne ku ndiga zaffe okuleetanga mu nnyumba ya Katonda waffe eri bakabona abaaweererezanga mu nnyumba ya Katonda waffe: