Nehemiah 10:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe kyawandiikibwa mu Tteeka, tujja kuleetanga mu Kiggwa kya Katonda waffe, eri bakabona abaweerezaamu, abaggulanda baffe mu baana baffe, na buli kiggulanda mu nte, endiga n'embuzi zaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tunaaleetanga mu mawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, eri bakabona, ekitole ekibereberye ku mmere gye tunaabanga tugoyezza, ne ku biweebwayo byaffe, ne ku bibala ebya buli muti gwaffe ebiriibwa, ne ku wayini waffe, ne ku mafuta. Ate era tunaaleeteranga Abaleevi ekimu eky’ekkumi ku bimera byaffe, kubanga Abaleevi be bakuŋŋaanya ebitundu eby’ekkumi mu byalo byaffe byonna gye tulimira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli mwaka tunaaleetanga ebibereberye eby'omugoyo gwaffe n'ebiweebwayo byaffe ebisitulibwa, n'ebibala eby'oku miti egy'engeri zonna, omwenge n'amafuta, eri bakabona mu bisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe; n'ebitundu eby'ekkumi eby'amakungula gaffe eri Abaleevi; kubanga abo, Abaleevi, be baaweebwa ebitundu eby'ekkumi mu bibuga byonna gye tulimira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli mwaka, tunaaleetanga eri bakabona abali mu Ssinzizo, omutemwa gw'emmere yaffe ey'empeke esooka okukungulwa, era n'omwenge, n'omuzigo ogw'emizayiti, n'ebibala eby'oku miti egya buli ngeri. N'Abaleevi tunaabatwaliranga ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'amakungula gaffe, kubanga Abaleevi abo, be baweebwa ekitundu ekimu eky'ekkumi, mu byalo byaffe byonna gye tulimira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nga tunaaleetanga ebibereberye eby'omugoyo gwaffe n'ebiweebwayo byaffe ebisitulibwa, n'ebibala eby'oku miti egy'engeri zonna, omwenge n'amafuta, eri bakabona mu bisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe; n'ebitundu eby'ekkumi eby'ettaka lyaffe eri Abaleevi; kubanga abo, Abaleevi, be baaweebwa ebitundu eby'ekkumi mu bibuga byonna gye tulimira.