Nehemiah 10:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tujja kuleetanga mu mawanika g'Ekiggwa kya Katonda waffe, eri bakabona, ebisooka eby'obutta bwaffe, n'ebitone byaffe, ne ku bibala eby'emiti, ne ku vviini gye twakasogola, ne ku muzigo gw'oliva. Tujja kuwanga Abaleevi ekyekkumi ku birime byaffe, anti Abaleevi be bakuŋŋaanya ekyekkumi mu bibuga byonna gye tukolera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona, ow’omu lulyo lwa Alooni, yanaawerekeranga abaleevi, bwe banaabanga bagenze okukima ebitundu eby’ekkumi, era Abaleevi banaaleetanga kimu kya kkumi ku bitundu eby’ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge, mu mawanika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kabona ava mu nnyumba ya Alooni anaabanga wamu n'Abaleevi, Abaleevi bwe banaaweebwanga ebitundu eby'ekkumi eky'oku bitundu eby'ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge mu nnyumba ey'okuterekamu eby'obugagga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona, muzzukulu wa Arooni, anaabeerangawo ng'Abaleevi baweebwa ebitundu eby'ekkumi. Era Abaleevi banaaleetanga mu tterekero ly'omu Ssinzizo lya Katonda waffe ekitundu kimu eky'ekkumi eky'ebitundu eby'ekkumi bye bafunye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabona mutabani wa Alooni anaabanga wamu n'Abaleevi, Abaleevi bwe banaaweebwanga ebitundu eby'ekkumi: era Abaleevi banaaleetanga ekitundu eky'ekkumi eky'oku bitundu eby'ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge mu nnyumba ey'okuterekamu eby'obugagga.