Nehemiah 10:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona asibuka mu Aroni ajja kubeeranga n'Abaleevi ng'Abaleevi bakuŋŋaanya ekyekkumi. N'Abaleevi ba kuleetanga ekyekkumi mu Kiggwa kya Katonda waffe bakisse mu materekero g'enkuluze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ba Isirayiri okwo nga kw’otadde n’Abaleevi, banaaleetanga ebirabo byabwe eby’emmere ey’empeke, ne wayini omuggya, n’omuzigo mu mawanika, ebintu eby’omu kifo ekitukuvu gye biterekebwa, era bakabona abaweereza, n’abakuuma wankaaki n’abayimbi gye babeera. “Tetuulagajjalirenga nnyumba ya Katonda waffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Leevi banaaleetanga ekiweebwayo ekisitulibwa eky'eŋŋaano n'eky'omwenge n'eky'amafuta mu bisenge omuli ebintu eby'omu kifo ekitukuvu, ne bakabona abaweereza n'abaggazi n'abayimbi; so tetuulagajjalirenga nnyumba ya Katonda waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala Abayisirayeli n'Abaleevi banaaleetanga omutemwa gw'emmere ey'empeke, n'omwenge, n'omuzigo gw'emizayiti, mu tterekero, omukuumirwa ebintu ebikozesebwa mu Kifo Ekitukuvu, okumpi n'ekifo bakabona abali ku mulimu, n'abakuumi, n'abayimbi, gye basula. “Tetujjanga kulagajjalira Ssinzizo lya Katonda waffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Leevi banaaleetanga ekiweebwayo ekisitulibwa eky'eŋŋaano n'eky'omwenge n'eky'amafuta mu bisenge omuli ebintu eby'omu kifo ekitukuvu, ne bakabona abaweereza n'abaggazi n'abayimbi: so tetuulekenga nnyumba ya Katonda waffe.