Nehemiah 11:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakulembeze b'abantu baasenga mu Yeruzaalemu; abantu abasigaddewo ne bakuba akalulu, mu buli kkumi muveemu omu ajje asenge mu Yeruzaalemu, ekibuga ekitukuvu, abalala omwenda basigale mu bibuga byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulembeze b’abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi, abantu abalala ne bakuba akalulu okulonda omuntu omu ku buli bantu kkumi okugenda okubeera mu Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu; omwenda bo ne basigala mu byalo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakulu b'abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi; era n'abantu abalala ne bakuba obululu okulonda omuntu omu ku buli bantu kkumi okumuleeta okubeera mu Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, ne bali omwenda okubeera mu bibuga ebirala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biseera ebyo, abakulembeze b'abantu mu ggwanga, ne babeeranga mu Yerusaalemu. Abantu abalala ne bakuba obululu okulonda omuntu omu ku buli bantu kkumi, okubeeranga mu Yerusaalemu, ekibuga ekitukuvu, n'abalala omwenda ku buli kkumi, okubeeranga mu bibuga ebirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakulu b'abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi: era n'abantu abalala ne bakuba obululu okuggya omu ku kkumi okumuleeta okubeera mu Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, ne bali omwenda okubeera mu bibuga ebirala.