Nehemiah 11:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne banne bwe baakolanga emirimu gy'omu Kiggwa, abasajja lunaana mu abiri mu babiri; Adaaya mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Pelaliya, mutabani wa Amuzi, mutabani wa Zakariya, mutabani wa Pasukuru, mutabani wa Malukiya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne baganda baabwe abaakolanga emirimu mu yeekaalu, be basajja lunaana mu abiri mu babiri (822); Adaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Peraliya, muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne baganda baabwe abaakolanga omulimu ogw'omu nnyumba, baali lunaana mu abiri mu babiri (822). Okwo kw'ossa ne Adaya mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Peraliya, mutabani wa Amuzi, mutabani wa Zekkaliya, mutabani wa Pasukuli, mutabani wa Malukiya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo ne baganda baabwe bonna awamu abaaweerezanga mu Ssinzizo, baali lunaana mu abiri mu babiri. Okwo kw'ossa ne Adaaya mutabani wa Yerohaamu, Yerohaamu mutabani wa Pelaliya, Pelaliya mutabani wa Amuzi, Amuzi mutabani wa Zekariya, Zekariya mutabani wa Pasuhuuri, Pasuhuuri mutabani wa Malukiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne baganda baabwe abaakolanga omulimu ogw'omu nnyumba, olunaana mu abiri mu babiri: ne Adaya mutabani wa Yerokamu mutabani wa Peraliya mutabani wa Amuzi mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Pasukuli mutabani wa Malukiya,