Nehemiah 11:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne banne abaali abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abasajja ebikumi bibiri mu ana mu babiri; Amasusayi mutabani wa Azareli, mutabani wa Akuzayi, mutabani wa Mesillemoti, mutabani wa Yimmeri,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne baganda be, abaali abakulu b’ennyumba; abasajja ebikumi bibiri mu ana mu babiri (242); Amasusaayi mutabani wa Azaleri, muzzukulu wa Azayi, muzzukulu wa Mesiremoosi, muzzukulu wa Immeri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne baganda be, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, bibiri mu ana mu babiri (242) ne Amasusaayi mutabani wa Azaleeri, mutabani wa Azayi, mutabani wa Mesiremosi, mutabani wa Immeri,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna awamu, Adaaya ne baganda be baali ebikumi bibiri mu ana mu babiri, abaakuliranga ennyumba za bajjajjaabwe. N'omulala ye Amasusayi mutabani wa Azareeli, Azareeli mutabani wa Ahuzayi, Ahuzayi mutabani wa Mesillemoti, Mesillemoti mutabani wa Yimmeri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne baganda be, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, ebikumi bibiri mu ana mu babiri: ne Amasusaayi mutabani wa Azaleri mutabani wa Azayi mutabani wa Mesiremoosi mutabani wa Immeri,