Nehemiah 11:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne banne abasajja abatabaazi abazira kikumi mu abiri mu munaana. Omwami waabwe omukulu yali Zabudiyeli mutabani wa Kaggedolimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne baganda be, abaali abalwanyi abazira; abasajja kikumi mu abiri mu munaana (128). Omukulu waabwe ye yali Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne baganda baabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, kikumi mu abiri mu munaana (128) ne Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu ye yali omulabirizi waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano awamu ne baganda baabwe, baali kikumi mu abiri mu munaana, abasajja ab'amaanyi era abazira. Omukulembeze waabwe yali Zabudiyeeli, mutabani wa Haggedoliimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne baganda baabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, kikumi mu abiri mu munaana: ne Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu ye yali omulabirizi waabwe.