Nehemiah 11:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mattaniya, mutabani wa Mika, mutabani wa Zabudi, mutabani wa Asafu eyakuliranga eby'entendereza n'okwegayirira; Bakubukiya amuddirira mu banne; ne Abuda mutabani wa Sammuwa, mutabani wa Galali, mutabani wa Yedutuni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zabudi muzzukulu wa Asafu, eyakulemberanga okwebaza mu kiseera eky’okusaba; Bakubukiya omumyuka we mu baganda be; ne Abuda mutabani wa Sammuwa, muzzukulu wa Galali, ate muzzukulu wa Yedusuni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne Mattaniya mutabani wa Mikka, mutabani wa Zabudi, mutabani wa Asafu eyali omukulu era eyakulemberanga mu kusinza okw'okwebaza, ne Bakubukiya ow'okubiri mu baganda be; ne Abuda mutabani wa Sammuwa, mutabani wa Galali, mutabani wa Yedusuni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Mattaniya mutabani wa Mikka, Mikka mutabani wa Zabudi, Zabudi mutabani wa Asafu eyakulemberanga mu kusinza okw'okwebaza, ne Bakubukiya eyamyukanga Mattaniya, ne Abuda mutabani wa Sammuwa, Sammuwa mutabani wa Gaalaali, Gaalaali mutabani wa Yedutuuni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Mattaniya mutabani wa Mikka mutabani wa Zabudi mutabani wa Asafu eyali omukulu okuleeterezanga okwebaza bwe baasabanga, ne Bakubukiya ow'okubiri mu baganda be; ne Abuda mutabani wa Sammuwa mutabani wa Galali mutabani wa Yedusuni.