Nehemiah 11:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza b'omu Kiggwa baabeeranga ku kasozi Ofeli; Zika ne Gisupa be baakuliranga abaweereza b'omu Kiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abaweereza ba yeekaalu baabeeranga ku lusozi Oferi, era Zika ne Gisupa be baali abakulu baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abaweereza b'omu Yeekaalu ne babeeranga mu Oferi; ne Zika ne Gisupa be baali abakulu b'Abaweerezanga mu Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abaweereza b'omu Ssinzizo baabeeranga mu Yerusaalemu, mu kitundu kye bayita Ofeli, era baalabirirwanga Ziha ne Gisupa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nave Abanesinimu ne babeeranga mu Oferi: ne Zika ne Gisupa be baali abakulu b'Abanesinimu.