Nehemiah 11:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukulu w'Abaleevi mu Yeruzaalemu yali Wuzzi, mutabani wa Bani, mutabani wa Kasabiya, mutabani wa Mattaniya, mutabani wa Mika, omu ku basibuka mu Asafu abaaweerezanga mu Kiggwa kya Katonda ng'abayimbi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukulu w’Abaleevi mu Yerusaalemi yali Uzzi mutabani wa Baani, muzzukulu wa Kasabiya, muzzukulu wa Mattaniya, era muzzukulu wa Mikka. Ate era Uzzi yali omu ku bazzukulu ba Asafu, abaakulemberanga okuyimba mu nnyumba ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Uzzi mutabani wa Baani, mutabani wa Kasabiya, mutabani wa Mattaniya, mutabani wa Mikka, ow'oku baana ba Asafu abayimbi, ye yali omulabirizi w'Abaleevi e Yerusaalemi okulongoosa emirimu egy'omu nnyumba ya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyalabiriranga Abaleevi mu Yerusaalemu yali Wuzzi, mutabani wa Baani, Baani mutabani wa Hasabiya, Hasabiya mutabani wa Mattaniya, Mattaniya mutabani wa Mikka, Mikka asibuka mu nnyumba ya Asafu. Ab'ennyumba ya Asafu be baali abayimbi mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Uzzi mutabani wa Baani mutabani wa Kasabiya mutabani wa Mattaniya mutabani wa Mikka, ow'oku baana ba Asafu abayimbi, ye yali omulabirizi w'Abaleevi e Yerusaalemi okulongoosa emirimu egy'omu nnyumba ya Katonda.