Nehemiah 11:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka ye yabawanga ebiragiro, era n'awa n'abayimbi entereeza y'emirimu gyabwe egya buli lunaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayimbi baakoleranga ku biragiro bya kabaka, nga buli lunaku bwe lwetaaganga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kabaka yali alagidde ebigambo byabwe, era yali akuutidde abayimbi eby'enkalakkalira bye banafunanga nga buli lunaku bwe lwetaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kabaka yali ataddewo ekiragiro era n'enkola abayimbi abo bye banaagobereranga buli lunaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kabaka yali alagidde ebigambo byabwe, era yali akuutidde abayimbi eby'enkalakkalira nga buli lunaku bwe lwetaaga.